Proverbs 23

1Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,
weetegerezanga ebiri mu maaso go;
2era weegendereze
bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
3 aTolulunkanira mmere ye ennungi,
kubanga erimbalimba.

4Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;
weefuge obeere mukkakkamu.
5 bEby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,
kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro
ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.

6 cTolyanga mmere ya muntu mukodo,
wadde okwegomba ebirungi by’alya.
7Kubanga ye muntu
abalirira ensimbi z’asaasaanyizza,
n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”
naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
8Akatono k’onooba olidde onookasesema,
ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.

9 dTotegana kubuulirira musirusiru,
kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.

10 eTojjululanga nsalo ey’edda,
so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11 fkubanga abalwanirira w’amaanyi,
alikuggulako omusango.

12Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,
n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.

13Tolekangayo kukangavvula mwana,
bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14Mubonerezenga n’akaggo,
kiwonye emmeeme ye okufa.

15Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,
kinsanyusa.
16 gNnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,
bw’onooyogeranga ebituufu.

17 hOmutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,
kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18 iMazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,
n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.

19Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,
okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 jTeweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
n’abalulunkanira ennyama:
21 kKubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
n’okubongoota olutata kubambaza enziina.

22 lWulirizanga kitaawo eyakuzaala,
so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
23 mGula amazima so togatunda,
ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24 nKitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
25Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,
omukazi eyakuzaala ajaguzenga.

26 oMwana wange mpa omutima gwo,
n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
27 pkubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,
n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28 qAteega ng’omutemu,
n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.

29Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?
Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?
Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 rAbo abatava ku mwenge,
nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31Totunuulira wayini ng’amyuse,
bw’atemaganira mu ggiraasi
ng’akka empolampola;
32ku nkomerero aluma ng’omusota,
wa busagwa ng’essalambwa.
33Amaaso go galiraba ebyewuunyo,
n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,
obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.
Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.
Nnaazuukuka ddi,
neeyongere okunywa?”
Copyright information for LugEEEE